Joshua 7:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mu munyago nalabamu omunagiro omulungi ogwakolerwa e Sinari, sekeli ebikumi bibiri eza ffeeza, n'ekitole kya zaabu ekizitowa sekeli amakumi ataano, ne mbyegomba, ne mbitwala. Nabikweka mu ttaka wansi munda wa weema yange, ffeeza nga y'ali wansi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe nalaba nga mu munyago mulimu ekyambalo ekirungi ekyava e Sinaali n’ensimbi, n’effeeza ne zaabu ne mbyegomba, bwe ntyo ne mbitwala ne mbisimira mu ttaka mu weema yange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe nnalaba mu munyago ekyambalo ekirungi ekya Sinaali, n'esekeri ez'effeeza bibiri (200), n'ekitole ekya zaabu ekigero kyakyo sekeri ataano (50), ne mbiyaayaanira ne mbitwala ne mbikweka mu ttaka wakati mu weema yange; ng'effeeza eri wansi wabyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bwe nalabye mu munyago ekyambalo ekirungi ekyava e Sinaari, ne kilo nga bbiri eza ffeeza, n'ekitole kya zaabu ekiweza obuzito nga bwa kimu kyakubiri ekya kilo, ne mbiyaayaanira ne mbitwala. Biziikiddwa mu weema yange, nga ffeeza ye ali wansi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe nnalaba mu munyago ekyambalo ekirungi ekya Sinaali, n'esekeri ez'effeeza ebikumi bibiri, n'olulimi olwa zaabu ekigero kyalwo esekeri amakumi ataano, ne ndyoka mbiyaayaanira, ne mbitwala; era, laba, bikwekeddwa mu ttaka wakati mu weema yange, ne ffeeza wansi waakyo: