Joshua 7:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'atuma ababaka, ne bagenda bunnambiro mu weema ya Akani, ne basanga byonna nga bikwekeddwa mu kifo kyennyini, ne ffeeza ng'ali wansi waabyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’atuma ababaka mu weema ya Akani era ne babisangayo ng’abisimidde mu ttaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yoswa n'atuma ababaka, ne bagenda bunnambiro mu weema ya Akani; ne basanga ng'ebintu ebyo bikwekeddwa mu weema ye, ng'effeeza y'eri wansi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yoswa n'atuma ababaka, ne bagenda bunnambiro mu weema ya Akani, ne basanga nga ddala ebintu gyebiri, nga ffeeza ye ali wansi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yoswa n'atuma ababaka, ne bagenda mbiro mu weema ye; era, laba, nga kikwekeddwa mu weema ye, n'effeeza wansi waakyo.