Joshua 7:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baabiggyayo mu weema ne babireeta eri Yoswa n'Abayisirayeli bonna, ne babyanjululiza mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne babifulumya ne babireeta eri Yoswa n’Abayisirayiri bonna, ne babissa mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabo ne babiggya yo wakati mu weema, ne babireetera Yoswa n'abaana ba Isiraeri bonna; ne babissa wansi mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne babiggyayo mu weema, ne babireetera Yoswa n'Abayisirayeli bonna, ne babissa wansi mu maaso ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo ne babiggya wakati mu weema; ne babireetera Yoswa n'abaana ba Isiraeri bonna; ne babissa wansi mu maaso ga Mukama.