Joshua 7:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yoswa n'atwala Akani mutabani wa Zeraki wamu ne ffeeza, omunagiro, n'ekitole kya zaabu, wamu n'abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'ente, endogoyi, endiga ne weema yennyini, na buli kantu ke yalina. Yisirayeli yenna n'agenda naye, ne babatwala mu Kiwonvu kya Akori.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bakwata Akani muzzukulu wa Zeera ne bye yanyaga: effeeza, ne zaabu, n’ekyambalo. Ne bamutwala ne batabani be, ne bawala be, n’ente ze n’endogoyi ze, n’endiga ze, n’eweema ye ne byonna bye yalina ne babiserengesa mu kiwonvu Akoli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yoswa, n'Abaisiraeri bonna, ne batwala Akani, muzzukulu wa Zeera, n'effeeza, n'ekyambalo, n'ekitole kya zaabu, n'abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'ente ze, n'endogoyi ze, n'endiga ze, n'eweema ye, ne byonna bye yalina; ne babatwala mu kiwonvu Akoli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa wamu n'Abayisirayeli bonna, ne bakwata Akani, mutabani wa Zeera, ne ffeeza n'ebyambalo, n'ekitole kya zaabu, ne batabani be ne bawala be, n'endogoyi ze n'endiga ze, ne weema ye, n'ebibye ebirala byonna, ne babatwala mu Kiwonvu Akori.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Yoswa n'Abaisiraeri bonna awamu naye ne batwala Akani, omwana wa Zeera, n'effeeza, n'ekyambalo, n'olulimu olwa zaabu; n'abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'ente ze, n'endogoyi ze; n'endiga ze, n'eweema ye ne byonna bye yalina: ne babalinnyisa mu kiwonvu Akoli: