Joshua 7:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'agamba nti: “Lwaki otuleetedde entaanya eno? Olwa leero naawe Omukama k'agikuleetere.” Awo Yisirayeli yenna n'amukuba amayinja, ate nga bonna bamaze okubakuba amayinja, ne babookya mu muliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’abuuza Akani nti, “Lwaki watuleetera ensasagge eno? Nga bwe wakola bw’otyo olwa leero naawe onookiraba Mukama ky’anaakukola.” Abayisirayiri bonna ne bayiikira Akani, n’abaana be n’ebintu bye ne babakuba amayinja ne babatta era ne babakumako omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'ayogera nti, “ Lwaki watuleetera emitawaana? Kaakano naawe Mukama anaakuleetako emitawaana.” Awo Abaisiraeri bonna ne bakuba Akani, n'ab'omunnyumba ye bonna amayinja;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'agamba nti: “Lwaki otuleetedde emitawaana? Kaakano Mukama emitawaana agituuse ku ggwe!” Abantu bonna ne bakuba Akani amayinja, n'afa. Era ne bakuba ab'omu nnyumba ye amayinja, ne bamwokera wamu nabo omuliro era n'ebintu bye byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'ayogera nti Kiki ekyakutweraliikirizisa? Mukama anaakweraliikiriza ggwe leero, Abaisiraeri bonna ne bamukuba amayinja; ne babookya omuliro, ne babakuba amayinja.