Joshua 7:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamukuŋŋaanyizaako entuumu nnene ey'amayinja, ekyaliwo na buli kati; Omukama n'aleka obusungu bwe obwesera. Ekifo ekyo ne kiyitibwa Ekiwonvu Akori n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne balyoka babatuumako amayinja, n’okutuusa kaakano entuumu y’amayinja eyo gagadde ekyaliwo. Mukama n’alekera awo okukambuwalira Abayisirayiri, ekiwonvu mwe babattira kyekyava kiyitibwa Akoli n’okutuusa kaakano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamutuumako entuumu ennene ey'amayinja, ekyaliwo ne kaakano; ekiwonvu ekyo kye kyava kiyitibwa Akoli, ne leero. Mukama n'akyuka n'aleka obusungu bwe obukambwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamutuumako entuumu ennene ey'amayinja, ekyaliwo ne kaakano. Ekiwonvu ekyo kyekyava kiyitibwa Ekiwonvu Akori. Awo Mukama n'aggweebwako obusungu bwe obukambwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamutuumako entuumu ennene ey’amayinja ne kaakano; Mukama n'akyuka okuleka obusungu bwe obukabwe. Erinnya ery'ekiwonvu kiri kyeryava liyitibwa ekiwonvu Akoli, ne leero.