Joshua 7:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe badda eri Yoswa ne bamugamba nti: “Tekyetaagisa bantu bonna kwambuka; abasajja ng'enkumi bbiri oba ssatu bagende, bawambe Ayi. Leka kukooyeza bwereere bantu, kubanga abantu batono abaliyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bakomawo ne bategeeza Yoswa nti, “Tosindika bantu bangi kulumba Ayi wabula weerezaayo abantu nga enkumi bbiri oba ssatu be baba balumba. Toweerezaayo bantu bonna kubanga ab’omu Ayi si bangi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bakomawo eri Yoswa, ne bamugamba nti, “Abantu bonna tekibeetaagisa kugendayo, wabula abantu ng'enkumi bbiri oba ssatu (2,000 oba 3,000), bagende bakirumbe bakikube. Toteganya bantu bonna kugendayo, kubanga abaayo batono.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakomawo eri Yoswa ne bamugamba nti: “Tekyetaagisa bantu bonna kugenda, naye abantu ng'enkumi bbiri oba ssatu bambukeyo balumbe Ayi. Tosindikayo ggye lyonna kulwana, kubanga abaayo batono.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakomawo eri Yoswa ne bamugamba nti Abantu bonna tebagendayo; naye abantu ng'enkumi bbiri oba ssatu balinnye bakube Ayi; toteganya abantu bonna okugendayo; kubanga abaayo batono.