Joshua 7:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja abatabaazi ng'enkumi ssatu mu bantu ne bambuka ku Ayi, naye ne badduka abasajja b'e Ayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri ng’enkumi ssatu ne boolekera Ayi, kyokka abasajja be Ayi ne babafubutula emisinde
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abalwanyi ng'enkumi ssatu (3,000), ne bagenda ne balumba Ayi, naye ne badduka mu maaso g'ab'e Ayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli ng'enkumi ssatu ne bambukayo, naye ab'e Ayi ne babazzaayo emabega,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne balinnyayo ku bantu abasajja ng'enkumi ssatu; ne badduka mu maaso g'ab'e Ayi.