Joshua 7:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo baabattamu abantu ng'asatu mu mukaaga, ne babawondera okubaggya ku wankaaki okutuuka e Sebarimu; mu kukkirira ensozi ne bagenda nga babakuba. Abantu emitima gyabwe ne gibatekemuka ne giba ng'amazzi obuzzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okubaggya ku wankaaki w’ekibuga okubatuusiza ddala emitala wa Sebalimu era Abayisirayiri ng’amakumi asatu mu mukaaga ne battibwa. Entiisa ne buutikira Abayisirayiri; emitima ne gibayenjebuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ab'e Ayi ne bakuba mu bo abantu ng'asatu mu mukaaga (36), ne babagoba okubaggya ku wankaaki w'ekibuga okubatuusa ku Sebalimu, ne babakubira awaserengeterwa, emitima gy'Abaisiraeri ne giterebuka, ne giba ng'amazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne babagoba okubaggya ku mulyango gw'ekibuga okubatuusa ku birombe by'amayinja, ne babattamu abantu ng'amakumi asatu mu mukaaga ku kaserengeto. Abayisirayeli ne baggwaamu amaanyi, ne batya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ab'e Ayi ne bakuba mu bo abantu ng'amakumi asatu mu mukaaga: ne babagoba okubaggya ku wankaaki okubatuusa ku Sebalimu, ne babakubira awaserengeterwa: emitima gy'abantu ne gisaanuuka, ne giba ng'amazzi.