Joshua 7:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakanaani n'abatuuze b'omu nsi bonna bajja kukiwulira; bajja kwegatta batuzingize, basaanyeewo erinnya lyaffe ku nsi. Kiki ky'onookolera erinnya lyo ekkulu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakanani n’abali mu kitundu ekyo kyonna bwe banaakiwulira bajja kutwebungulula batusaanyeewo. Olwo erinnya lyo ekkulu bwe lityo liriba terikyavuga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Abakanani n'abali mu nsi bonna bwe banaakiwulira, banaatuzingiza, ne batusaanyawo okuva ku nsi. Kale onookola otya okukuuma ekitiibwa ky'erinnya lyo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Abakanaani n'abalala bonna abali mu nsi eno, bajja kuwulira kino batuzingize batusaanyeewo. Kale olwo olikola otya okukuuma ekitiibwa kyo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Abakanani n'abali mu nsi boana baliwulira, balituzingiza baliggya erinnya lyaffe ku nsi: naawe olirokola otya erinnya lyo ekkulu?