Joshua 8:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Yoswa nti: “Leka kutya, totekemuka. Twala eggye lyo lyonna, situka olumbe ekibuga Ayi. Kabaka waayo mmuwadde mu mikono gyo, n'abantu, ekibuga n'ensi ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Yoswa nti, “Totya era tokeŋŋentererwa, ddira abasajja bonna abalwanyi mulumbe ekibuga Ayi kubanga mbawadde obuwanguzi ku kyo. Kabaka, n’abantu be, ne byonna ebiri mu kibuga Ayi mbibawadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Yoswa nti, “Totya, so toterebuka; twala abalwanyi bonna olumbe Ayi. Nkuwadde okuwangula kabaka w'e Ayi n'abantu be, n'ekibuga kye, n'ensi ye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Yoswa nti: “Totya era toterebuka. Twala abalwanyi bo bonna oyambuke e Ayi. Nja kukuwa okuwangula kabaka w'e Ayi n'abantu be n'ekibuga kye n'ensi ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Yoswa nti Totyanga, so tokankananga: twala abantu bonna abalwanyi naawe, ogolokoke olinnye ku Ayi: laba, nkuwadde mu mukono gwo kabaka wa Ayi, n'abantu be, n'ekibuga kye, n'ensi ye;