Joshua 8:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku makya n'asituka, n'akunga abantu; ye n'abakadde ba Yisirayeli nga bakulembeddemu, n'ayambuka e Ayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa yakeera nnyo mu makya ne yeekebejja abalwanyi be, oluvannyuma ye n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne boolekera Ayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'akeera enkya n'akuŋŋaanya abantu wamu n'abakadde ba Isiraeri, n'abakulembera ne bagenda e Ayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkeera Yoswa n'agolokoka mu makya, n'ayita abalwanyi, ne bakuŋŋaana. Awo ye ng'ali n'abakulembeze mu Yisirayeli, n'abakulembera ne bagenda e Ayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka; n'akuŋŋaanya abantu, n'alinnya, ye n'abakadde ba Isiraeri, mu maaso g'abantu ne bagenda e Ayi.