Joshua 8:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'eggye lyonna eryali naye ne bambuka, ne basemberera ekibuga, ne bayimirira emitala w'ekibuga, ne basiisira mu mambuka ga Ayi, ng'ekiwonvu kibaawudde ku kibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja bonna abalwanyi ne basemberera ekibuga era ne bakuŋŋaanira mu maaso g’ekibuga Ayi mu bukiikakkono bwakyo, ng’ekiwonvu kye kibaawula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalwanyi bonna abaali naye, ne basembera mu maaso g'ekibuga ne basiisira ku luyi olw'obukiikakkono obwa Ayi; nga waliwo ekiwonvu wakati waabwe ne Ayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalwanyi bonna abaali naye ne bambuka, ne batuuka mu maaso g'ekibuga, ne bakuba olusiisira ku ludda olw'ebukiikakkono, nga waliwo ekiwonvu wakati waabwe ne Ayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bonna, abalwanyi abaali naye, ne balinnya ne basembera ne batuuka ekibuga we kiraba, ne basimba olusiisira ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'e Ayi: era waaliwo ekiwonvu wakati we ne Ayi.