Joshua 8:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa yali alonze abasajja enkumi nga ttaano ng'abakwese mu makkati ga Beteli ne Ayi, ebugwanjuba w'ekibuga ekyo kyennyini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’addira abalwanyi ng’enkumi ttaano ne bateegera wakati wa Beseri ne Ayi ebuvanjuba w’ekibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atwala abantu ng'enkumi ttaano (5,000), n'abateekateeka ne bategeera wakati wa Beseri ne Ayi, ku luuyi lw'ekibuga olw'ebugwanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atwala abantu ng'enkumi ttaano, n'abategeka ne beekweka ku ludda olw'ebugwanjuba bw'ekibuga, wakati wa Beteli ne Ayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atwala abantu ng'enkumi ttaano, n'abateekateeka okuteega wakati wa Beseri ne Ayi, ku luuyi olw'ebugwanjuba olw'ekibuga.