Joshua 8:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne basimba olusiisira lwabwe emambuka w'ekibuga, ne bateeka eggye eryekwese ebugwanjuba bw'ekibuga. Yoswa n'agenda ekiro ekyo mu kiwonvu wakati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibinja ky’abalwanyi ekisinga obunene ne kikuŋŋaanira mu bukiikakkono w’ekibuga ate ekibinja ekizibizi ne kikuŋŋaanira ebugwanjuba w’ekibuga. Naye ye Yoswa ekiro ekyo yasula mu kiwonvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo bwe baateekateeka abalwanyi, eggye eddene lyali mu bukiikakkono obw'ekibuga, ate n'abateezi baabwe nga baali ebugwanjuba obw'ekibuga; Yoswa ye, n'agenda ekiro ekyo wakati mu kiwonvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalwanyi ne bategekebwa, ng'eggye eddene liri mu bukiikakkono obw'ekibuga, ate ng'abalwanyi abalala bali mu bugwanjuba bwakyo. Yoswa n'amala ekiro ekyo mu kiwonvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe batyo bwe baateekateeka abantu, eggye lyonna eryali ku bukiika obwa kkono obw'ekibuga, era n'abateezi baabwe abaali ebugwanjuba obw'ekibuga; Yoswa n'agenda ekiro ekyo wakati mu kiwonvu.