Joshua 8:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka w'e Ayi bwe yalaba ekyo, n'ayanguwa ku makya, n'afuluma wamu n'abantu be bonna ab'omu kibuga okusisinkana Yisirayeli mu lutalo mu kifo ekitunuulidde Araba; naye teyamanya nti bamwekwekeredde emabega w'ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu makya kabaka wa Ayi n’abantu be olwalengera Abayisirayiri ne bafubutuka okugenda okubalwanyisa awo okwolekera Alaba, naye tebaamanya nti waaliwo Abayisirayiri abalala abaali babeekwekeredde emabega w’ekibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka kabaka we Ayi bwe yalaba abalwanyi ba Yoswa, ye n'abantu be bonna ab'omukibuga ne bayanguwa ku makya okugenda okulwana ne Yoswa n'abalwanyi be abaali mu kiwonvu Alaba. Naye Kabaka teyamanya nti waaliwo abaali bamuteeze emabega w'ekibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka w'e Ayi bwe yalaba abasajja ba Yoswa, ye n'abantu be bonna ab'omu kibuga ne banguwa mangu, ne bagenda ku makya mu Kiwonvu kya Yorudaani okulwanyisa Abayisirayeli abo, nga kabaka tamanyi nti waliwo abamuteeze emabega w'ekibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka kabaka we Ayi bwe yakiraba, ne banguwa ne bagolokoka, enkya, n'abantu ab'omu kibuga ne bajja ku Baisiraeri okulwana, ye n'abantu be bonna, ku kiseera ekiragiddwa, mu maaso ga Alaba; naye teyamanya nga waliwo abamuteeze ennyuma w'ekibuga.