Joshua 8:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna abaali mu Ayi ne bakungibwa babawondere. Ne bawondera Yoswa, bonna ne batwalirizibwa okuva mu kibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna abaali mu kibuga ne bakoowoolwa okugoba Abayisirayiri, ne babagobera ddala era ne babawereekereza wala nnyo n’ekibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abantu bonna abaali mu kibuga ne bakuŋŋaanyizibwa okubawondera. Ne bagoba Yoswa; naye ne yeyongerayo okutuusa lwe beesuulira ddala ekibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja bonna ab'omu kibuga ne bayitibwa okubawondera. Gye baakoma okuwondera Yoswa, gye baakoma n'okwesuula ekibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abantu bonna abaali mu kibuga ne bakuŋŋaanyizibwa okubagoberera: ne bagoba Yoswa, ne basendebwasendebwa okuva mu kibuga ewala.