Joshua 8:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewaasigala musajja n'omu mu Ayi ne mu Beteli ataawondera Yisirayeli. Baaleka ekibuga kiggule ne bagoba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali musajja n’omu yasigala mu Ayi oba Beseri, ekibuga kyonna baaleka kiggule nga bagenze okugoba Abayisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mutasigala muntu mu Ayi newakubadde mu Beseri, ataagenda kugoba Isiraeri; ekibuga ne kisigala nga kiggule.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja bonna ne baggwaayo mu Ayi ne mu Beteli okuwondera Abayisirayeli, ne baleka ekibuga nga kiggule, awatali akikuuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mutasigala muntu mu Ayi newakubadde mu Beseri, atazze kugoba Isiraeri: ne baleka ekibuga nga kigguliddwawo ne bagoba Isiraeri.