Joshua 8:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Yoswa nti: “Gololera ku Ayi akajogolo akali mu mukono gwo, kubanga ŋŋenda kukuwa Ayi mu mikono gyo.” Yoswa n'agololera akajogolo ku Ayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Yoswa nti, “Galula omuwunda gwo ng’ogwolekeza Ayi, kubanga ojja kukiwangula.” Bw’atyo Yoswa n’agalula omuwunda gwe eri Ayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Yoswa nti, “Galula omuwunda oguli mu mukono gwo ku Ayi; kubanga nnaakikuwa mu mukono gwo. Yoswa n'agalula omuwunda ogwali mu mukono gwe eri ekibuga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba Yoswa nti: “Effumu ly'okutte ligalulire ku Ayi, kubanga nnaakiwaayo mu mikono gyo.” Yoswa n'agalulira ku kibuga ekyo effumu ly'akutte.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Yoswa nti Galula omuwunda oguli mu mukono gwo ku Ayi; kubanga naakikuwa mu mukono gwo. Yoswa n'agalula omuwunda ogwali mu mukono gwe eri ekibuga.