Joshua 8:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwali okugolola omukono, abasajja abaali beekwese ne basituka, ne bafubutuka amangu ago okuva gye baali, ne bayingira ekibuga, ne bakikwata, amangu ago ne bakiteekera omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago ng’agaludde omuwunda abaali beekwese ne bafubutukayo ne besogga ekibuga era amangwago ne bakikoleeza omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa bwe yamala okugalula omuwunda, abateezi ne bafubutuka okuva we baali bateegedde, ne bayingira ekibuga, ne bakimenya mangu ne bakyokya omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa olwagolola omukono gwe, abateezi ne basituka mangu gye baali beekwese, ne badduka mbiro ne bayingira mu kibuga, ne bakiwamba, amangwago ne bakyokya omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abateezi ne bagolokoka mangu mu kifo kyabwe, ne baddukana mbiro bwe yamala okugolola omukono, ne bayingira mu kibuga, ne bakimenya; ne banguwa ne bookya ekibuga omuliro.