Joshua 8:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi ne kabaka waakyo bya kukola nga bwe wakola Yeriko ne kabaka waakyo, wabula nti muyinza okwetwalira ku munyago ne ku bisolo by'awaka. Mubeekwekerere emabega w'ekibuga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi ne kabaka waakyo mu bayise nga bwe mwakola Yeriko, omunyago gwonna okuva mu Ayi ngubawadde. Mwekukume muteegere emabega w’ekibuga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era olikola Ayi ne kabaka waamu nga bwe wakola Yeriko ne kabaka waamu. Naye omunyago gwakyo awamu n'ente zaakyo mulibyetwalira okuba omunyago gwammwe. Muteegere ekibuga emabega waakyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ojja kukola ku Ayi ne kabaka waakyo kye wakola ku Yeriko ne kabaka waakyo. Naye ku mulundi guno ebintu n'amagana muyinza okubyesigaliza ng'omunyago gwammwe. Muteegere ekibuga emabega waakyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era olikola Ayi ne kabaka waamu nga bwe wakola Yeriko ne kabaka waamu: naye omunyago gwakyo n'ente zaakyo mulibyetwalira okuba ebinyage byammwe: muteegere ekibuga ennyuma waakyo.