Joshua 8:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu b'e Ayi bwe baakebuka; okwetegereza nga balaba omukka gw'ekibuga guttunka gwambuka ku ggulu. Tebaalina na wa kuddukira batoloke, kubanga be baali bawondera, abaali babadduka nga balaga mu ddungu, baakyuka ne balumba ababawondera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja b’omu Ayi bagenda okukebuka ng’ekibuga kyabwe kinyooka omukka nga tebakyasobola kudda mabega wadde okugenda mu maaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'e Ayi, abaali bagoba Yoswa, bwe baatunula emabega waabwe, ne balaba omukka oguva mu kibuga nga gunyookera mu bbanga ne baggwamu amaanyi nga tebalina wakuddukira. Awo Abaisiraeri be baali bagoba ne babakyukira okubalumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'e Ayi bwe baatunulako emabega ne balaba omukka oguva mu kibuga nga gunyooka okutuuka mu bire, ne babulwa gye banaddukira, kubanga Abayisirayeli abaali baddukidde mu ddungu, baabakyukira okubalumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'e Ayi bwe baalaba ennyuma waabwe, ne batunula, era, laba, omukka ogw'ekibuga nga gunyookera mu ggulu, ne bataba na maanyi ga kudduka okugenda eri newakubadde okudda eno: n'abantu abaali baddukidde mu ddungu ne babakyukirako abaabagoba.