Joshua 8:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Yoswa ne Yisirayeli yenna bwe baalaba ng'ekibuga kimaze okuwambibwa, n'omukka mu kibuga nga guttunka, ne bakyuka ne balumba abasajja b'e Ayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’abasajja be bwe baalaba nga bannaabwe beesozze ekibuga era ne bakyokya, kwe kukyukira abaali babagoba ne babatta ebitagambika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'Abaisiraeri bonna bwe baalaba ng'abateezi baabwe bamenye ekibuga, nga n'omukka gunyooka mu kibuga awo nabo ne bakyuka nate, ne batta ab'e Ayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'Abayisirayeli bonna bwe baalaba ng'abateezi baabwe bawambye ekibuga era nga kinyooka omukka, awo ne bakyuka ne batandika okutta ab'e Ayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'Abaisiraeri bonna bwe baalaba ng'abateezi bamenye ekibuga, n'omukka ogw'ekibuga nga gunyooka, awo ne bakyuka nate, ne batta ab'e Ayi.