Joshua 8:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'abaali ku gw'okwekwekerera, ne bafuluma mu kibuga okubalumba; ne bataayizibwa mu makkati, nga Yisirayeli ali ku njuyi zombi. Yisirayeli n'abakuba okutuusa nga tewali asigaddewo yawonawo oba eyasumattuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri abaayokya ekibuga nabo ne bavaayo ne bafuumbikiriza abasajja b’omu Ayi ne babatta obutalekaawo n’omu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaisiraeri abaali mu kibuga ne bavaayo okubalumba; Abe Ayi ne babeera wakati mu ba Isiraeri eruuyi n'eruuyi; ne babakuba, obutaganya muntu n'omu okusigalawo newakubadde okudduka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'Abayisirayeli abaali mu kibuga, nabo ne bajja okulumba abalabe. Olwo ab'e Ayi ne babeera wakati, nga beetooloddwa Abayisirayeli, ne battibwa bonna, ne wataba n'omu asigalawo, wadde adduka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abalala bannaabwe ne bava mu kibuga okubalumba; ne babeera wakati mu Baisiraeri, abalala eruuyi n'abalala eruuyi: ne babakuba, obutaganya muntu kusigalawo newakubadde okudduka.