Joshua 8:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kabaka w'e Ayi ne bamuwamba nga mulamu, ne bamutwalira Yoswa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ye kabaka w’e Ayi baamuwamba ne bamuleetera Yoswa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka we Ayi ne bamukwata nga mulamu, ne bamuleeta eri Yoswa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okuggyako kabaka w'e Ayi gwe baawamba nga mulamu, ne bamutwalira Yoswa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kabaka we Ayi ne bamukwata nga mulamu, ne bamuleeta eri Yoswa.