Joshua 8:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli bwe yamala okutta bonna ab'e Ayi abaali ku ttale ne mu ddungu, gye baali babagobedde okutuusa nga bonna basaanyiziddwaawo n'obwogi bw'ekitala, Abayisirayeli ne badda e Ayi, ne batta bonna abaali mu kibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri bwe baamala okutta abantu b’omu Ayi abaali babagoberedde mu ddungu, ne balyoka bakomawo mu kibuga kya Ayi ne batta abantu bonna abaakirimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, Abaisiraeri bwe baamala okuttira ddala ab'e Ayi abaali babawondedde mu ddungu ne baggweerawo ddala, ne balyoka bakomawo mu kibuga ne batta bonna abaali basigaddewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli bwe baamala okuttira ddala abatuuze b'omu Ayi bonna abaali babawondedde mu ddungu, ne bakomawo mu Ayi, ne batta buli muntu eyalimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abaisiraeri bwe baamala okuttira ddala abaali mu Ayi bonna mu lusenyi, mu ddungu lye baabagoberamu, bonna ne bagwa n'obwogi bw'ekitala ne baggwaawo, Abaisiraeri bonna ne balyoka bakomawo e Ayi, ne bakikuba n'obwogi bw'ekitala.