Joshua 8:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuwendo gw'abo abattibwa ku olwo, bonna abasajja n'abakazi, baawera omutwalo gumu mu enkumi bbiri; bonna nga bantu ba mu kibuga Ayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja n’abakazi abattibwa ku olwo bonna baali omutwalo gumu mu enkumi bbiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna abaali mu Ayi, abasajja n'abakazi abattibwa ku lunaku olwo, baali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Effumu Yoswa lye yali akutte ng'aligalulidde ku Ayi, n'atalissa wansi okutuusa nga buli eyakirimu amaze okuttibwa. Abantu bonna ab'omu Ayi abasajja n'abakazi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri, ne battibwa ku lunaku olwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bonna abattibwa ku lunaku olwo, abasajja n'abakazi, baali kakumi mu enkumi bbiri, be bantu bonna abaali mu Ayi.