Joshua 8:26 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa teyassa mukono gwe yali agolodde waggulu ng'akutte akajogolo, okutuusa abatuuze b'omu Ayi bonna nga bamaze okuttibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa bwe yagalula omuwunda gwe okugwolekeza ekibuga Ayi teyagussa wansi okutuusa ng’abaamu bonna bamaze okuzikirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa teyassa mukono gwe, gwe yagaluza omuwunda okutuusa lwe yamala okuzikiririza ddala abantu bonna abaali mu Ayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Yoswa teyazza mukono gwe, gwe yagaluza omuwunda, okutuusa lwe yamala okubazikiririza ddala abaali mu Ayi bonna.