Joshua 8:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa ekibuga yakyokya, n'akifuulira ddala ntuumu ya mirembe gyonna, amatongo n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’ayokya Ayi era ne kifuuka kifunvu ne leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'ayokya Ayi bw'atyo, n'akireka nga matongo, ne kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yoswa n'ayokya Ayi omuliro, n'akireka nga matongo, era ne leero bwe kikyali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'ayokya Ayi bw'atyo, n'akifuula ekifunvu emirembe gyonna, era ekyazika, ne kaakano.