Joshua 8:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye kabaka w'e Ayi yamuwanika ku muti n'amuleka okwo okutuusa akawungeezi. Enjuba bwe yali egwa Yoswa n'alagira bawanule omulambo gwe bagusuule mu muzigo gw'omulyango gw'ekibuga. Ne bagutuumako entuumu y'amayinja, ekyaliwo n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’atta kabaka wa Ayi n’amuwanika ku muti okutuusa akawungeezi lwe baawanulayo omulambo gwe ne bagusuula awo ku wankaaki w’ekibuga ne bagutuumako entuumu y’amayinja era ekyaliyo ne kaakano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'awanika kabaka we Ayi ku muti, okutuusa enjuba bwe yagwa. Awo n'alagira omulambo gwe okuggyibwa ku muti, ne bagusuula ku wankaaki w'ekibuga ne bagutuumako entuumu ennene ey'amayinja, ekyaliwo ne kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'awanika kabaka w'e Ayi ku muti okutuusa olweggulo. Enjuba bwe yagwa, n'alagira bawanuleyo omulambo, ne bagusuula ku mulyango ogwa wankaaki w'ekibuga, ne bagutuumako entuumu ennene ey'amayinja ekyaliwo ne kaakano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kabaka we Ayi n'amuwanika ku muti okutuusa olweggulo: enjuba bwe yagwa Yoswa n'alagira, ne baggya omulambo gwe ku muti, ne bagusuula ku muzigo: ku wankaaki ow'ekibuga, ne bagutuumako entuumu ennene ey'amayinja, ne kaakano.