Joshua 8:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga Musa omuweereza w'Omukama bwe yali alagidde Abayisirayeli ne kiwandiikibwa mu Kitabo ky'Etteeka lya Musa nti omwaliiro gubanga gwa mayinja amalamba, agatakoonwangako kintu kya kyuma. Okwo kwe baaweerereza Omukama ebitambiro ebyokye n'ebitambiro eby'okussa ekimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yakuutira Abayisirayiri era nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky’amateeka ga Musa, “Ekyoto eky’amayinja agataabajjibwa muntu ng’akozesa ekyuma.” Bwe kyaggwa ne batandika okukiweerako Mukama ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akizimba ng'agoberera ebiragiro bya Musa omuweereza wa Mukama, bye yawa abaana ba Isiraeri, era nga bwe byawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka ga Musa nti, “Ekyoto kinaazimbibwanga n'amayinja amalamba agatayasibbwangako na kyuma kyonna.” Awo ne balyoka bakiweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, n'ebiweebwayo eby'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yagizimba ng'agoberera ebiragiro bya Musa, omuweereza wa Katonda, bye yawa Abayisirayeli, nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa nti: “Alutaari ekolebwenga na mayinja amalamba agatayasiddwa na kyuma kyonna.” Ne baweerako eri Mukama ebitambiro ebyokebwa, era ne bawaayo ebiweebwayo olw'okutabagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabalagira abaana ba Isiraeri; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka ga Musa, ekyoto eky'amayinja amalamba, omuntu g'atassaako kyuma kyonna: ne bakiweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ne bamuleetera ebiweebwayo olw'emirembe.