Joshua 8:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo Yoswa, mu maaso g'Abayisirayeli, gye yawandiikira ku mayinja Etteeka Musa lye yali awandiise
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’awandiikira eyo ku mayinja mu maaso g’Abayisirayiri bonna, amateeka Musa ge yasooka okuwandiikira abaana ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yoswa n'awandiika ku mayinja ago amateeka ga Musa ng'abaana ba Isiraeri balaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amateeka Musa ge yawandiika, Yoswa n'agawandiika awo ku mayinja ng'Abayisirayeli balaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'awandiika awo ku mayinja amateeka ga Musa, ge yawandiika, mu maaso g'abaana ba Isiraeri.