Joshua 8:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli yenna, omugwira n'omuzaaliranwa, abakadde, abaami n'abalamuzi baali bayimiridde erudda n'erudda w'Essanduuku, nga batunuulidde bakabona Abaleevi abaali basitudde Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama. Ekitundu ekimu eky'abantu kyali ku lusozi Gerizimu, ate ekirala ku lusozi Ebali, nga Musa omuweereza w'Omukama okuva mu masooka bwe yali alagidde bibeere ng'abantu ba Yisirayeli bagenda okufuna omukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri bonna n’abakulembeze baabwe, abalamuzi, n’abakungu ne bannaggwanga bonna ab’omu Isirayiri ne bayimirira eruuyi n’eruuyi w’Essanduuko okwolekera bakabona Abaleevi abaasitulanga Essanduuko y’Endagaano ya Mukama. Ne beegabanyaamu, ekitundu ekimu ne bayimirira mu maaso g’olusozi Gerizimu, ate abalala ne bayimirira mu maaso g’olusozi Ebali, nga Musa omuddu wa Mukama bwe yabalagira mu kusooka nti, “Kibagwanidde okusabira Abayisirayiri omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Isiraeri bonna, enzaalwa ne bannamawanga ababeera mu bo, n'abakadde baabwe, n'abaami, n'abalamuzi baabwe, ne bayimirira eruuyi n'eruuyi lw'Essanduuko, nga batunuulidde bakabona Abaleevi, abasitudde Essanduuko eyo ey'Endagaano ya Mukama. Ekitundu kyabwe ekimu eky'okubiri, baayimirira nga batunuulidde olusozi Gerizimu, n'ekitundu ekirala nga batunuulidde olusozi Ebali. Bw'atyo Musa omuweereza wa Mukama bwe yabalagira okusookanga okukola, nga bagenda okusabira abantu ba Isiraeri omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bonna enzaalwa era n'ab'amawanga amalala ababeera mu bo, n'abakulembeze baabwe n'abaami era n'abalamuzi baabwe ne bayimirira erudda n'erudda lw'Essanduuko, nga batunuulidde bakabona Abaleevi, abasitudde Essanduuko eyo ey'Endagaano ya Mukama. Ekitundu kyabwe ekimu ekyokubiri, baayimirira nga batunuulidde Olusozi Gerizimu, n'ekitundu ekirala nga batunuulidde Olusozi Ebali. Bw'atyo Musa omuweereza wa Katonda bwe yabalagira okusooka okukola, nga bagenda okuweebwa omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'Abaisiraeri bonna, n'abakadde baabwe, n'abaami, n’abalamuzi baabwe, ne bayimirira eruuyi n'eruuyi ez'essanduuko mu maaso ga bakabona Abaleevi, abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama, si nzaalwa bokka, naye ne bannaggwanga ekitundu kyabwe kumi olusozi Gerizimu gye lusimba, n’ekitundu kyabwe ekirala olusozi Ebali gye lusimba; nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira, basookenga okusabira omukisa abantu ba Isiraeri.