Joshua 8:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma Yoswa n'asoma ebigambo by'Etteeka byonna, omukisa n'ekikolimo, nga bwe byawandiikibwa mu Kitabo ky'Etteeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma Yoswa n’abasomera ebigambo byonna eby’omu mateeka, emikisa n’ebikolimo nga byonna bwe byawandiikibwa mu Kitabo ky’Amateeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma Yoswa n'asoma ebigambo byonna eby'amateeka, omukisa n'okukolimirwa, nga byonna bwe byawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yoswa n'asoma mu lwatu Amateeka gonna, omuli ebigambo eby'okusabira omukisa n'okukolima, nga bwe byawandiikibwa mu Kitabo ky'Amateeka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma n'asoma ebigambo byonna eby'amateeka, omukisa n'okukolimira, nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka.