Joshua 8:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku ebyo Musa bye yalagira tekwali ky'ataasomera Yisirayeli yenna ng'akuŋŋaanye; omwo mwe mwali abakazi, abaana, n'abagwira abaabeeranga mu bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali kigambo na kimu Musa kye yalagira, Yoswa ky’ataasomera Bayisirayiri bonna, abaali bakuŋŋaanye abasajja n’abakazi n’abaana abato ssaako ne bannaggwanga be baabeeranga nabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewaali kigambo mu byonna Musa bye yalagira, Yoswa ky'ataasomera kibiina ky'abaana ba Isiraeri, omwali abakazi, abaana, ne bannamawanga abaatambuliranga mu bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali teeka lya Musa na limu Yoswa ly'ataasomera lukuŋŋaana lwonna olw'Abayisirayeli, omuli abakazi n'abaana abato, n'ab'amawanga amalala ababeera mu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali kigambo mu byonna Musa bye yalagira, Yoswa ky'ataasoma mu maaso ag'ekkuŋŋaaniro lyonna erya Isiraeri, n'abakazi, n’abaana abato, ne bannaggwanga abaatambulanga mu bo.