Joshua 8:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo nze n'abatabaazi bonna be ndi nabo, tujja kulumba ekibuga. Bwe banaafuluma okutulumba nga luli, nga tubadduka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze n’abalwanyi abalala tujja kwolekera ekibuga, bwe banaatufubutula ng’olulala, tujja kuddukira ddala
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze n'abantu bonna abali nange tunaasemberera ekibuga; awo, bwe banajja okutulumba, ng'olubereberye, ne tulyoka tudduka okuva mu maaso gaabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze n'abantu bonna abanaaba nange, tunaasemberera ekibuga. Ab'omu kibuga bwe banajja okutulumba, tujja kukyuka tubadduke, nga bwe twakola olwasooka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nange n'abantu bonna abali nange tunaasemberera ekibuga: awo, bwe banajja okutulumba, ng'olubereberye, ne tulyoka tudduka mu maaso gaabwe;