Joshua 8:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bajja kutuwondera okutuusa nga bonna tubatwalirizza ne baleka ekibuga, kubanga bajja kulowooza nti. ‘Batudduse nga bwe baakola luli.’ Ffe bwe tunaaba tubadduka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tubatwalirize ewala okuva ku kibuga, tubalowoozese nti, tubadduse. Ffe tujja kuddukira ddala tubabuleko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bajja kutuwondera okutuusa nga tumaze okubasendasenda beesuule nnyo ekibuga. Bajja kulowooza nti tubadduse nga bwe twakola olwasooka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bajja kutuwondera, okutuusa nga tumaze okubasendasenda beesuule nnyo ekibuga. Bajja kulowooza nti tubadduse nga bwe twakola olwasooka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nabo banajja okutugoberera, okutuusa lwe tunaabasendasenda okuva mu kibuga ewala; kubanga banaayogera nti Badduse mu maaso gaffe ng'olubereberye; kyetunaava tudduka mu maaso gaabwe: