Joshua 8:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo nga nammwe musituka gye mwekwese, nga mukwata ekibuga. Omukama Katonda wammwe ajja kukibawa mu mikono gyammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo mulyoke mufubutuke gye mwekwese, muwambe ekibuga kubanga Mukama ajja kukibawa mukiwangule.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nammwe munaagolokoka we muteegedde, ne muwamba ekibuga; kubanga Mukama Katonda wammwe anaakibawa ne mukiwangula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mmwe mujja kuva we muteegedde, muwambe ekibuga. Mukama Katonda wammwe anaakiwaayo mu mikono gyammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nammwe munaagolokoka we muteegedde, ne mukwata ekibuga: kubanga Mukama Katonda wammwe anaakiwaayo mu mukono gwammwe.