Joshua 9:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emigaati gyaffe gino we twagisibirako nga tuva eka okujja gye muli gyali gikyabuguma, naye kati mikalu, gikukudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale laba emmere yaffe eno we twaviira eka ng’ekyayokya naye olw’olugendo oluwanvu kaakano yiino yonna nkalu era ekukudde n’okukula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emmere yaffe eno ey'entanda twagisiba ng'ekyabuguma mu nnyumba zaffe ng'ekyabuguma ku lunaku lwe twavaayo okujja gye muli; naye kaakano, laba, ekaliridde, era ekutte n'obukuku;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emmere yaffe yiino. Twagisiba entanda nga tukyali ka, ng'ekyabuguma ku lunaku lwe twavaayo okujja gye muli. Naye kaakano, yiino ekaliridde, era ekutte obukuku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emmere yaffe eno twagisibirira entanda yaffe mu nnyumba zaffe ng'ekyabuguma ku lunaku lwe twavaayo okujja gye muli; naye kaakano, laba, ekaliridde, era ekutte n'obukuku: