Joshua 9:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zino endyanga z'evviini zaali mpya we twazijjuliza, ziizino kati zaabiridde; ebyambalo byaffe n'engatto byonna biggweeredde biweddewo olw'obuwanvu bw'olugendo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensawo z’omwenge zino ez’amaliba zaali mpya era nga zijjudde omwenge, naye kaakano laba n’okwabika zaabise; ebyambalo n’engatto zaffe byonna byabise olw’olugendo oluwanvu lwe tutambudde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amaliba gano ag'omwenge, ge twajjuza, gaali maggya; era, laba, gayuliseyulise; n'ebyambalo byaffe bino n'engatto zaffe bikaddiye olw'olugendo olunene ennyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ensawo ez'omwenge zino ez'amaliba, twazijjuza nga mpya. Naye mulabe! Ziizino ziyuliseyulise! N'ebyambalo byaffe bino n'engatto zaffe, bikaddiye olw'olugendo olunene ennyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amaliba gano ag’omwenge, ge twajjuza, gaali maggya; era, laba, gayuliseyulise: n'ebyambalo byaffe bino engatto zaffe bikaddiye olw'olugendo olunene ennyo,