Joshua 9:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'akola nabo endagaano y'emirembe okubaleka nga balamu; n'abakulembeze b'ekibiina ne bakakasa endagaano eyo nga balayira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne bakola nabo endagaano y’emirembe era ne beerayirira obutabakolako kabi konna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'abakulu b'ekibiina ne bakola nabo endagaano ey'emirembe ne babalayirira obutabatta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'akola n'abantu b'e Gibiyoni endagaano ey'okutabagana, n'abalagaanya obutabatta. Abakulembeze b'ekibiina ky'Abayisirayeli ne babalayirira okukuuma endagaano eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'alagaana nabo emirembe, n'alagaana nabo obutabatta: n’abakulu b'ekibiina ne babalayirira.