Joshua 9:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne basitula, ku lunaku olwokusatu ne batuuka ku bibuga byabwe bino: Gibewoni, Kefira, Beeroti ne Kiriyati-Yewarimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri ne bagenda okunoonyereza, ku lunaku olwokusatu ne batuuka mu bibuga by’abantu bano: Gibyoni, ne Kefira, ne Beroosi ne Kiriyasuyalimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne batambula, ne ku lunaku olwokusatu (3) ne batuuka mu bibuga byabwe. Ebibuga byabwe byali Gibyoni, Kefira, Beerosi, ne Kiriyasuyalimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne batambula, era mu nnaku ssatu ne batuuka mu bibuga byabwe Gibiyoni ne Kefira, ne Beetoti ne Kiriyati Yeyariimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne batambula ne batuuka mu bibuga byabwe ku lunaku olw'okusatu: Ebibuga byabwe byali Gibyoni, ne Kefira, ne Beerosi, ne Kiriyasuyalimu.