Joshua 9:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abayisirayeli tebaabalumba, kubanga abakulembeze b'ekibiina baali babalayiridde mu linnya ly'Omukama Katonda wa Yisirayeli. Ekibiina kyonna ne kyemulugunyiza abakulembeze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abayisirayiri tebatta bantu bano kubanga abakulembeze baabwe baali baamala dda okwerayirira mu linnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri obutabatta. Abayisirayiri bonna ne beemulugunyiza abakulembeze baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abaana ba Isiraeri ne batabatta, kubanga abakulu b'ekibiina baali babalayiridde eri Mukama Katonda wa Isiraeri. Ekibiina ky'Abaana ba Isiraeri kyonna ne kyemulugunyiza abakulu baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Abayisirayeli ne batabatta, kubanga abakulembeze baabwe baali babalayiridde Mukama, Katonda wa Yisirayeli. Ekibiina kyonna ne kyemulugunyiza abakulembeze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Isiraeri ne batabakuba, kubanga abakulu b'ekibiina baabalayirira Mukama Katonda wa Isiraeri: N'ekibiina kyonna ne kyemulugunyiza abakulu.