Joshua 9:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakulembeze bonna ne baanukula nti: “Twabakakasa ne tulayira mu linnya ly'Omukama Katonda wa Yisirayeli, awo nno tetuyinza kubakwatako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bo abakulembeze ne bakakata nti, “Twamala dda okwerayirira mu maaso ga Mukama Katonda wa Isirayiri, tetuyinza kubatta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abakulu bonna ne baddamu ekibiina kyonna nti, “Abantu abo twabalayirira Mukama Katonda wa Isiraeri; kale kaakano tetuuyinze kubakolako kabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abakulembeze bonna ne babaddamu nti: “Abantu bano twabalayirira Mukama Katonda wa Yisirayeli. Kale kaakano tetuyinza kubakolako kabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abakulu bonna ne bagamba ekibiina kyonna nti Twabalayirira Mukama Katonda wa Isiraeri: kale kaakano tetuuyinze kubakwatako.