Joshua 9:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kino kye tujja okukola: tujja kubaleka nga balamu, tuleme kwewakulira busungu olw'okumenya ekirayiro kye twabalayirira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tetuteekwa kubatta kubanga twalayira obutakikola, singa tukikola obusungu bwa Mukama bujja kutubuubuukirako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tubaleke nga balamu, kubanga twabalayirira, Mukama aleme okutusunguwalira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye tunaabakolera kwe kubaleka nga balamu, Mukama aleme kutusunguwalira olw'ekirayiro kye twabalayirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe tunaabakola bwe tutyo, okubaleka nga balamu; obusungu buleme okutubaako, olw'ekirayiro kye twabalayirira.