Joshua 9:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bongerako nti: “Ka basigalewo nga balamu, naye babeerenga baasi ba nku na bakimi ba mazzi eri ekibiina kyonna.” Ne bakola ng'abakulembeze bwe baagamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakulembeze b’Abayisirayiri ne bagamba nti, “Temubatta.” Bwe batyo ne bafuuka baakwasanga nku era n’okukimanga amazzi g’Abayisirayiri ng’abakulembeze bwe babalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakulu ne bagamba ekibiina nti, “Mubaleke nga balamu; baasenga enku era bakimirenga ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri amazzi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulembeze era ne bagamba nti: “Mubaleke nga balamu, basennyerenga enku era basenerenga amazzi ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakulu ne bagamba nti Mubaleke nga balamu: ne babeera abaasi b'enku era abasenyi b'amazzi eri ekibiina kyonna; ng'abakulu bwe baabagamba.