Joshua 9:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'atumya Abagibewoni n'abagamba nti: “Lwaki mwatulimbalimba nga mugamba nti: ‘Tubeera wala nnyo okuva we muli,’ sso nga mubeera kumpi naffe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’ayita abantu abo n’ababuuza nti, “Naye lwaki mwatulimba nti muli b’ewala, so nga ate muli baliraanwa baffe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'abayita n'ababuuza nti, “Lwaki mwatulimba nga mwogera nti, ‘Tuva wala nnyo so ng'ate muli ba wano kumpi?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'atumya abantu b'e Gibiyoni, n'ababuuza nti: “Lwaki mwatulimba nga mugamba nti muli ba wala nnyo, sso ate nga muli ba wano kumpi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'abayita n'abagamba nti Kiki ekyabatulimbya, nga mwogera nti Tuli wala nammwe, nga muli muffe?