Joshua 9:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baanukula nti: “Ffe abaweereza bo baatubuulira nti Omukama Katonda wo yalagira Musa omuweereza we okubawa ensi eno yonna n'okusaanyaawo mu maaso go abatuuze baamu bonna. Twatiiririra nnyo obulamu bwaffe olw'okubeera mmwe, kyetwava tukola tutyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa ne bamuddamu nti, “Abaddu bo kino twakikola lwa kubanga twawulira nti, Mukama Katonda wo yalagira omuddu we Musa okubawa ensi eno era n’okuzikiriza bonna abagibeeramu, bwe tutyo ne tutya nnyo ne twagala okuwonya obulamu bwaffe kye kyatukozeseza ekintu kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamuddamu Yoswa nti, “Kubanga abaddu bo baategeezebwa ddala nga Mukama Katonda wo yalagira Musa omuweereza we okubawa ensi eno yonna, n'okuzikiriza bonna abagirimu; kyetwava tutya okututta, ne tukola bwe tutyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuddamu nti: “Ssebo, ekyo twakikola, kubanga ffe abaddu bo, twawulira nti ddala kituufu nga Mukama, Katonda yalagira omuweereza we Musa okubawa mmwe ensi eno yonna, n'okutta abantu bonna abagirimu nga mujja. Bwe mwajja, ne tutya nnyo nti mujja kututta, kyetwava tukola ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamuddamu Yoswa ne boogera nti Kubanga abaddu bo baategeezebwa ddala nga Mukama Katonda wo yalagira Musa omuweereza we okubawa ensi yonna, n'okuzikiriza bonna abali mu nsi mu maaso gammwe; kyetwava tutya ennyo olw'obulamu bwaffe ku lwammwe, ne tukola bwe tutyo.