Joshua 9:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno tuli mu mikono gyo; tukole ky'olowooza nga kye kirungi ate ekituufu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye tuutuno kaakano tuli mu mukono gwo gw’omanyi eky’okutukolera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne kaakano, laba, tuli mu mukono gwo; tukole kyonna ky'olaba nga kirungi era nga kye kituufu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano tuli mu mikono gyo. Tukole kyonna ky'olaba nga kirungi era nga kye kituufu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano, laba, tuli mu mukono gwo: bw'olowooza nga kirungi era kituukirivu okutukola, kola bw'otyo.