Joshua 9:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo n'alagira Abagibewoni babe baasi ba nku na bakimi ba mazzi mu kibiina n'eri omwaliiro gw'Omukama mu kifo Omukama ky'aliba alonze. Bwe batyo bwe bali n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye okuva olwo n’abafuula baakwasanga nku n’okukimiranga Abayisirayiri amazzi, era n’okuweerezanga ku kyoto kya Mukama mu kifo Mukama ky’anaalondanga okukiteekamu. Era bwe batyo bwe bakola ne leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo Yoswa n'abafuula abaasi b'enku era abakimi b'amazzi eri ekibiina n'eri ekyoto kya Mukama, ne mu kifo ekirala kyonna ky'anaabalagiranga. Ogwo gwe mulimu gwabwe ne kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula okuva olwo n'abalagira okusennyeranga enku n'okukimiranga amazzi Abayisirayeli ne alutaari ya Mukama, mu kifo Mukama ky'anaasiimanga. Ogwo gwe mulimu gwe bakyakola ne kaakano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli Yoswa n'abafuula abaasi b'enku era abasenyi b'amazzi eri ekibiina n'eri ekyoto kya Mukama, ne kaakano, mu kifo ky'anaalagiranga.